Bannyini bizimbe n’ennyumba ez`obupangisa mu ggwanga abamanyiddwa nga ba Landlords, batandiseewo ekibiina mwe begattira, basobole okwogeza eddoboozi limu ku bintu ebibasoomooza.
Ekibiina kiino kitumiddwa Makki Landlord Association Uganda.
Lwanga Daudi alondeddwa ng’omukulembeze wakyo ne Ddamba Kisuze Ssaabawandisi.
Lwanga Daudi alondeddwa ng`omukulembeeze wekibiina, agamba nti balina omukoleravawamu nfa bannyini bizimbe okwaŋaanga ebizibu ebibaluma Omuli okubabinika emisolo emikakali, okubasalirawo nga tebategeezeddwako ku nsonga ez’enjawulo, ennyumba zabwe ezisulwamu obutazisasuza misolo, abapangisa ababalyazaamaanya nebaddukira ku bizimbe ebirala n’ensonga endala.
Ddamba Kisuze ssaabawandiisi wekibiina kinno, agamba nti bagenda kutalaaga eggwanga lyonna, nga buli district balondamu akakiiko akakulembera ba landlord okusobola okugonjola ebizibu byabwe.
Bisakiddwa: Musisi John