Bannauganda bannekolera gyange bajjumbidde okweterekera ensimbi mu kitongole ky’abakozi ekya National Social Security Fund NSSF baweze emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu lunaana (22.8k).
NSSF yasaawo enkola eya buli muntu alina omulimu gw’akola okubaako ensimbi zeyeeterekera mu kitongole kino, zisobole okumujuna singa abeera atuuse mu biseera by’okuwummula.
Okusinziira ku alipoota eweereddwa akulira NSSF Patrick Ayota ku Triangle Hotel e Mbarara, bw’abadde asisinkanye abakozi abenjawulo, agambye nti NSSF yakaterekera abakozi obukadde bubiri n’emitwalo abiri (2.20m), nga kuliko abamu abaggyayo sente zabwe zonna nga batuuse okuwummula.
Abakyalinayo sente bali akakadde kamu n’emitwalo 60 (1.6m), abakyatereka bali emitwalo nsanvu mu enkumi nnya (704k).
Abakozesa oba kampuni n’ebitongoke ebyakewandiisa mu NSSF bali emitwalo 8 mu kanaana mu bibiri (88.2k).
Abakozesa abakyateekayo ensimbi z’abakozi bali emitwalo 4 mu kakaaka mu bitaano (46.5k).
Mu tteeka eppya erifuga NSSF kati omukozi waddembe okuggyayo ku nsimbi ze ebitundu 20% bw’aweza emyaka 45 egy’obukulu, olwo ezisigadde n’azifuna ng’awezezza emyaka 55.
Abaliko obulemu bbo bakkirizibwa okuggyayo ebitundu 50%, nga bawezezza emyaka 40 egy’obukulu.#