Okunoonyereza okukoleddwa bannamukago abalafuubanira obuyonjo kulaze nti bannauganda obukadde 15 tebalina kabuyonjo saako amazzi amayonjo ekiteeka obulamu bwabwe mu matigga.
Alipoota eraze nti ku buli maka 10 agaakoleddwamu okunoonyereza, 3 gaabadde tegalina kabuyonjo.
Abantu abatambula engendo ez’enjawulo, abakozi mu bitongole ne kampuni ezitali zimu saako abasuubuzi abakolera mu butale n’ebizimbe ebiwerako kizuuliddwa nti bangi tebalina kabuyonjo zamulembe.
Kizuuse nti mu masomero naddala aga primary nayo abayizi babeera mukusoomozebwa olwa kabuyonjo ezitamala, so ng’amasomero agamu abayizi basiiba bekunizza olw’obutaba na kabuyonjo wadde nga zaajjula nezigwamu.
Bino byanjuddwa mu nsisinkano ebadde ku Hotel Africana nga yetabyeemu banakyweewa mu mukago gwa Uganda Water and sanitation Network n’ababaka ba parliamen.
Ssenkulu w’ekitongole ki UWASNET Unia Musaazi agambye nti Uganda erina abantu abasukka mu bukadde 15 abatalina kabuyonjo, nga kino kiri mu bibuga ne mu byalo.
Unia Musaazi asabye government ekwasizeeko bannakyeewa mu kutumbula obuyonjo n’amazzi amayonjo mu masomero ne mu bantu babulijjo ng’ezimba kabuyonjo ez’omulembe mu bitundu ebyenjawulo ne mu masomero.
Agambye nti kino kyakuyambako okukendeeza ku nsimbi bannansi zebamalira mu malwaliro okujjanjaba endwadde eziva ku buligo n’amazzi amacaafu.
Bisakiddwa: Kato Denis