Sipiika wa parliament Anita Annet Among alagidde ekitongole ekiddukanya ekibuga Kampala ki Kampala Capital City Authority, okutereeza enguudo z’ekibuga kyonna wakiri okuzikuba ebiraka zitereere mu kifo ky’okukolako enguudo zokka eziyitamu abagenyi.
KCCA etandise okudaabiriza enguudo zomu Kampala ezigenda okuyitamu abagenyi abaneetaba mu lukungaana lw’amawanga olwa Non-Aligned Movement, olunabaawo nga January 2024 mu Kampala Uganda.
Among bw’abadde aggulawo olutuula lwa parliament agambye nti KCCA esaanye emanye nti ne bannauganda baakoowa ebinnya ebiyitiridde mu nguudo za Kampala, nabo kale esaanye ebatwale ng’abagenyi ebakolere enguudo zebayitamu.
Among era esabye government okukozesa omukono ogw’ekyuma ku bantu abazimba mu ntobazi abaviiriddeko okwonoona obutonde bw’ensi n’amataba okwanjalira mu bitundu omusula abantu.
Minister omubeezi ow’obutonde bwensi Atim Beatrice Anywar agambye nti okusoomozebwa kwebalina kye kitongole kya NEMA ekyawa abantu satifikeeti okukolera emirimu egyenjawulo mu bifo by’entobazi.
Bisakiddwa: Wasajja Mahad