Kyaddaki Uganda eweereddwa ebifo ebisinga obungi eby’obukulembeze obw’okuntiko mu mukago gwa East African Community.
Uganda ebbanga lyonna ebadde ekukkuluma buli lwewabaawo okulonda obukulembeze obwokuntikko mu mukago, ngégamba nti ebifo ebijiweebwa bitono.
Mu bukulembeze obuggya, Uganda efunye ebifo 5 eby’obukulembeze obugenda okukola emirimu n’obukulembeze obubaddewo.
Abalondeddwa ye Alex Obatre Lumumba nga Clerk wo`mukago,Julius Simon Otim wa byabulamu,Assimwe Caroline avunanyizibwa ku bisomesebwa, Godfrey Addisson Enzama alondeddwa nga Engineer, Annete Bazhiginywa Kenganzi yavunanyizibwa ku kutumbula omutindo gwebintu m kago ,Betty Kamunyi Nankya ye muwandiisi w’omukago era avunanyizibwa ku ensonga z’amateeka.
Minister we ensonga za East Africa era omumyuka asooka owa Ssaabaminister wa Uganda Rebecca Kadaga, agambye nti ekituukiddwako kyakwenyumirizamu kuba babadde bamaze akaseera nga tebaweebwa bifo byakinzo mu mukago guno.
Asabye abaweereddwa ebifo okubikozesa okukyusa ebyenfuna bya Uganda n’omukago okutwalira awamu.
Omukago gwa East Africa kulimu amawanga nga Uganda, Kenya, Tanzania awali ekitebe kyomukago guno ekikulu mu kibuga Arusha,saako Burundi, South Sudan, Rwanda, ne Democratic Republic of Congo eyakabegattako.
Ekigendererwa kyámawanga gano kwekutondawo embeera etumbula ebyobusuubuzi ebyawamu, okukyusa embeera za bantu.
Abantu abasukka mu bukadde 150 bebali mu mawanga ga East African Community.