Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Africa kironze bannauganda 3 ku mirimu egyenjawulo mu mpaka za CAF Champions League ne CAF Confederations Cup ku mipiira egy’omutendera gwa semifinals.
Mike Letti alondedwa nga match commissioner ne Dixon Okello nga ow’ebyokwerinda.
Bakubeera ku mupiira club ya Atletico De Luanda eya Angola bweneeba ettunka ne Waydad Casablanca eya Morocco nga 7 omwezi guno ogwa May 2022 e Luanda mu mpaka za CAF Champions League.
Mungeri yeemu Jamil Ssewanyana alondeddwa okukuliramu eby’okwerinda ku mupiira club ya RS Barkene eya Morocco bweneeba ettunka ne TP Mazembe eya DR Congo, mu mpaka za CAF Confederations Cup.
Omupiira guno gwakuzanyibwa nga 15 May,2022 e Morocco era nga nagwo ku luzannya olwa semifinals.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe