Bannauganda ebitundu 75% bagamba nti police ne kitongole ekiramuzi byebisinga okwenyigira mu bulyi bw’enguzi ,sso nga bikwatibwako butereevu okulwanyisa omuze.
Bino bibadde mwalipota ekoleddwa ekitongole ky’obwanakyewa ekya Afro Barometer ekinonyereza ku nteekateeka ya government, eyokutuukiriza ebiruubirirwa byensi yonna, omuli okumalawo obwavu,ebyobujjanjabi ebirungi, ebyejigiriza , okukuuma obutonde bwensi ,obwenkanya n’ebirala.
Alipoota eno ekoleddwa wakati w’omwaka 2017 – 2022.
Alipoota eraze nti abantu ebitundu 75% tebakyalina bwesigwa mu police ne kitongole ekiramuzi, olw’e nguzi efumbekedde mu bitongole ebyo.
Kitegerekese nti enguzi nóbutali bwesigwa mu bitungole ebyo, eviiriddeko abantu abamu okuva kubyokuwaaba emisango, nebasirika busirisi.
Alipoota yeemu eraze nti ababaka ba parliament ebitundu 43% benyigira mu bukenuzi n’obulyake, ekiremesezza emirimu mu parliament okutambula obulungi nókutuusa obuweereza obusaanidde ku bannauganda.
Alipota ya Afro Barometer egamba nti bannauganda ebitundu 34% batubidde mu bwavu, nga bagamba nti government tefuddeyo kubamanyisa nteekateeka zaayo bwezitambula ez’okweggya mu mbeera gyebalimu, sso nga ebitundu 25% tebatusibwako mazzi mayonjo.
Alipota ye kitongole kya Afro Barometer eyongedde okulaga nti okutyobola obutonde bwensi kweyongedde naddala nga kukolebwa abakungu ba government ne bannabyabufuzi, nga bano bali ku bitundu 78%.
Alipoota efulumiziddwa omunonyereza omukulu era omukwanaganya w’e mirimu mu Afro Barometer Francis Kibirige, ku mukolo ogubadde ku Mystil hotel mu Kamnpala.
Kibirige agambye nti government yesigazza obuvunanyizibwa okulaba nti ebitereddwa mu alipoota bikolebwako okuyamba bannauganda, okutuusibwako obuweereza obusaanidde.
Minister wa guno naguli mu office ya Ssaabaminister Justine Kasule Lumumba era nga yavunanyizibwa ku biruubirirwa by’ekyasa SDGs, yaguddewo okubaganya ebirowoozo ku alipoota eno nátegeeza nti government etandise okukyusa program zaayo zituuke ku bantu butereevu, omuli parish development Model, emyooga néndala.
Minister asabye president Museveni okukwata ku bakungu mu government ne byanabyabufuzi abatyobola obutonde bwensi, nti kuba kirabika amateeka agaliwo tebagawa kitiibwa betwalira waggulu.