Bannauganda abasoba mu kakadde kalamba beeboolekedde okukosebwa ebigwa tebiraze ebiva ku nkuba enaatera okutonnya n’amaanyi, amataba, enjala n’okubumbulukuka kw’ettaka mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu.
Alipoota ekoleddwa minister omubeezi avunanyizibwa ku bigwa tebiraze mu Offiisi ya Ssaabaminister w’eggwanga Lilian Aber,
alabudde bannansi abali mu bifo ebisiinga okukosebwa enkuba, okubeera bulindaala oba okubyamuka bunnambiro, nga ne government bwesalira ebizibu bino amagezi.
Alipoota enyonyodde nti werutuukidde olwaleero bannauganda abali eyo mu 300,000 bakoseddwa ebiggwa tebiraze okuli okubooga kw’emigga n’ennyanja ezivaako amataba, okubumbulukuka kw’ettaka, enjala n’ebirala.
Alipoota ya minister gyatutte mu parliament enyonyodde nti amaka 50,000 gegaakakosebwa olw’ebibamba bino, mu district ez’enjawulo okuli Ntoroko, Kasese, Bundibugyo, Bulambuli, Budaka, Mbale, Kisolo newalala.
Okusinziira ku minister Lilian Aber, government yataddewo akakiiko ekenjawulo okwanganga ebizibu bino eby’ebibamba.#