Essaza Gomba bannantameggwa ba 2020 liwanduse mu mpaka zaamasaza ezomwaka guno 2021, Ssingo ejikubye goolo 2 – 0.
Ate Buluuli ewangudde Kyadondo ku goolo 2-1.Olwo Buluuli ne Ssingo neziba nga ziyiseemu okuva mu kibinja Masengere okwesogga empaka ezisooka eziddirira ezakamalirizo (quarter final).
Buluuli eyiseewo n’obubonero 7, Ssingo 6, Gomba, Kabula ne Kyadondo ziwandukidde ku bubonero 4 buli emu.
Kyadondo yasalibwako obubonero 3 mu mupiira gweyazannya ne Kabula olwokuzanyisa omuzannyi omukyamu, bwetyo newandukira ku bubonero 4.
Festus Kirumira akulira ebyemirimu egy’ekikugu ku lukiiko oluddukanya empaka zino, agambye nti tiimu zonna mu kibinja kino zoolesezza omutindo ogw’amaanyi, okutuukira ddala ku mupiira ogusembyeyo ogubadde wakati wa Buluuli ne Kyadondo.
Enkya ku lw’okubiri ekibinja Muganzirwazza omuli Buddu, Butambala ,Busujju, Mawogola ne Buwekula kyakuyingira enkambi kitandike okuzannya ku lw’okusatu.
Abazannyi bonna balagiddwa okujja ne kaada zabwe ezikakasa nti babagema ekirwadde kya covid 19.
Emipiira gyonna gizannyibwa wali mu kisaawe kya Njeru technical centre mu Buikwe, tewakkirizibwayo bawagizi okwewala ekirwadde kya covid 19.