Omwogezi wa poliisi Fred Enanga ategezezza nti Poliisi e Kabalagala mu Kampala eriko bannansi ba Somalia basatu beekutte, oluvannyuma lw’okusangibwa n’akuuma akanasula bbomu.
Abakwate kuliko Abdul Karim Mayo emyaka 25 nga muvuzi wa mmotoka ezipangisibwa, Muhammed Hassan emyaka 28 be Asle Yasin Hussein emyaka 40.
Poliisi egamba nti bano poliisi yabasanze n’akuuma kano mu mmotoka namba UBF 158C gyebaali bakozesa okusaabaza banaabwe okuva e Muyenga, kwekubakwata bayambeko poliisi okunoonyereza ebikwata ku bbomu akuuma ako gyekaali kagenda okunasula.
Fred Enanga agambye nti waliwo nab’oluganda lwabakwaate bebafunye okwongera okugaziya okunoonyereza kwabwe.
Mu ngeri yému poliisi etegezezza nti ebikwekweeto ku batyoboola amateeka agassibwaawo okulwaanyisa kafiyu, ssabbiiti ewedde abantu 1623 bebaakwatibwa, 229 nebatwalibwa mu kooti, 64 balindiridde kutwalibwa mu kooti.
Mmotoka 1,136 zaaboyebwa okutyoboola amateeka ga kafiyu, 1,056 zaawa engassi, ate piki piki 2,621 zaaboyebwa, 1889 neziwa engassi.