Banna kibiina kya NRM mu Gombolola ye Lubaga bavudde mu mbeera nebafumuula Abudallah Kitatta ssentebe w’ekibiina kyabwe mu Gombolola ye Lubaga mu Kampala nga bamulanga okutondawo obubinja obwadibaze okuzza obuggya enkalala z’abanna kibiina kya NRM nezijjulamu abóludda oluvuganya government.
Banna kibiina kya NRM bakulembeddwamu ssaabawandiisi wa NRM mu Lubaga Hajji Muhammad Kibirige batuuzizza olukungaanga lwa bannamawulire ku Tarvan woods e Kabuusu bategeezezza nti NRM yaswadde nyo mukuzza obuggya enkalala z’abanna kibiina nebatuuka n’okubirwaniramu bokka nabokka, nti naye ng’obuzibu babuteeka ku sentebe wabwe atondawo obubiina obwenjawulo olwébigendererwa bye ngómuntu.
Bagambye nti bakooye obubondo obutondebwa mu gombolola eno nga bwabanna byabufuzi abaliisa abantu akakanja.
Kibirige agambye nti singa Kitatta alemera mu kifo kino bagenda kulumba abakulu ku kitebe kya NRM kibasalirewo ekiddako, nga bwebayiiya námagezi amalala.
Abamu ku bannakibiina bagamba nti batiisibwatiisibwa akabinja akeeyita NRM Yellow Power kebalumiriza okulemesa okuwandiisa banna NRM bebayita abatuufu ku nkalala ezakakomekkerezebwa.
Abalala balumiriza nti baakubwa mu kiseera ky’okuzza obuggya enkalala za NRM era nti baggulawo n’emisango ku police naye bakyalemeddwa okufuna obwenkanya
Wabula ssentebe wa NRM mu Lubaga Abudallah Kitatta bwatuukiriddwa ku nsonga ezimwogerwako agambye nti wakuzigonjoola ngékisiibo kiwedde, nti kubanga abamujwetekako ebigambo bayinza okumwonoonera ekisiibo kye, wabula nálabula nti tebayinza kumuggyamu bwesige nti kubanga ssi bebaamulonda.