Waliwo ba ssentebe ba NRM ku byalo eby’enjawulo mu kibuga Mukono abagala government ekake ba money lender okuddiza abantu endagamuntu zebaasingayo nga babawoola ensimbi.
Ssentebe wa NRM ku kyalo Ggulu A ekisangibwa mu Mukono Central Division Wasswa Muhammad Takwaana agambye nti endagamuntu kyekimu ku bisaanyizo by’okuzza obuggya enkalala z’abawagizi ba NRM, nti naye bangi bagenze okwewandiisa nga tebazirina nti kubanga ababawola ensimbi bazibatwalako dda.
Agambye nti embeera eno eyinza okusannyalaza enteekateeka eno nti kubanga bazze basanga obuzibu bwebumu nemu ntegeka ya Parush Development Model (PDM).
Bassentebe abalala okuli Ibrahim Kitenda owe Ngandu ne Hajjat Madinah Nabaweesa bagambye nti betaaga okwongezebwa ku bikozesebwa nga bali ku mulimu ge’okuwandiisa okugeza amazzi ag’okuwa abantu abagenda okwewandiisa.
Amyuka RDC mu district ye Mukono Mike Ssegawa bwabadde alambuula enteekateeka nga bwetambula, agumizza banakibiina nti wadde waliwo ebisomooza naye emirembe government ya NRM gyereese musingi mulungi okwekulakulannya, ate n’okukola ebintu bingi eby’omugaso ebitwala eggwanga mu maaso.
RDC Ssegawa asabye banna kibiina okwewala okusojja abavudde mu kibiina wabula babasikirize basobole okudda munda mu kibiina.
Ssentebe w’eggombolola ye Lwengo mu district ye Lwengo Kizito Lawrence agambye nti ne mu ggombolola gyakulembera banna kibiina kya NRM bangi tebanawandiisibwa olw’obutaba nandagamuntu, ng’abasinga baazisiinga mu bantu ssekinoomu abaabawoola ensimbi.
Minister w’Ebyensimbi avunanyizibwa ku Micro -Finance, Hajji Kyeyune Haruna Kasolo agambye nti bagenda kukwatagana ne police batandike okufefetta abawozi b’ensimbi mu bitundu eby’enjawulo, abawola abantu ssente ezimanyiddwa ng’Ez’embaata nebatwala Endagamuntu zabwe nezikolaanga omusingo.
Okuzza obuggya enkalala z’abawagizi ba NRM kwatandise eggulo nga 13 March, kukomekkerezebwa nga 17 March,2024.
Bisakiddwa: Majorine Kiita Mpanga