Akakiiko kebyókulonda mu kibiina kya NRM kakasizza ababaka 13 abegwanyiza ekifo kya sipiika wa Parliament okudda mu bigere bya Jacob Oulanya eyavudde mu bulamu bwensi eno.
Abakakasiddwa kuliko minister wébyobulamu Jane Ruth Acheng,Amyuka sipiika Anita Among,omubaka wa Arua City Atima Jackson,Jackson Kafuuzi amyuka ssabawolereza wa government,Theodore Ssekikubo owe Lwemiyaga,Felix Okot Ogong owe Dokolo.
Abalala ye ,Kintu Alex Brandon we Jinja,Asiimwe Florence Akiiki we Masindi ,Omubaka we Hoima Wakabi Pius ,Jacob Oboth Oboth minister omubeezi ow’obutebenkevu,Sarah Opendi mubaka mukyala we Tororo ne Obua Denis Hamson minisiter omubeezi ow’ebyemizannyo.
Ssentebe wákakiiko ke byokulonda mu kibiina kya NRM Dr Tanga Odoi agambye nti nti amannya gabano gakusindikibwa mu lukiiko olufuzi olwékibiina kya NRM (CEC) lubekenneenye.
Ku ludda oluvuganya gavumenti Asuman Basaalirwa owa Jeema naye agambye ekifo kya sipiika akyagala era akisobola.Ssemujju Nganda omu ku basoose okwegwanyiza ekifo abivuddemu nategeeza nti agenda kuwagira Basaalirwa.
Minister w’ebyamawulire ku ludda oluvuganya munna NUP Joyce Bagala,agambye nti nabo bagenda kutuula okusalawo ekiddako.