Abamu ku bannamateeka bagala etteeka erifuga akasiimo kabaaliko abakulembeze mu Uganda, likolebwemu ennongosereza mu bwangu, okugyawo ekyabakulembeze okuweebwa akasiimo akasukka mu mulundi ogumu.
Basinzidde ku mmotoka kapyata ,parliament zeyagabidde abaaliko ba sipiika baayo, nga n’abamu bakyaawereza mu government yeemu era bafuna akasiimo akasuka mu mulundi ogumu.
Edward Kiwanuka Ssekandi eyaliko sipiika era omumyuuka w’omukulembeze w’eggwanga afuna akasiimo ka mirundi 3,okuli ekeeyaliko omumyuka wa sipiika, sipiika era omumyuuka w’omukulembeze w’eggwanga
Rebecca Alitwaala Kadaga eyaliko sipiika wa parliament naye afuna akasiimo ka mirundi 2, okuli akeeyaliko omumyuuka wa sipiika nakeyaliko sipiika.
Abaaliko ba sipiika 5 baaweereddwa emmotoka kapyaaata ,ezaawemense obuwumbi bwa shs 3 nga buli emu yaguliddwa ensimbi eziri mu bukadde bwa shs 700.
Munnamateeka Dr.Sarah Bireete ssenkulu w’ekitongole ky’obwannakyeewa ekitakabanira enfuga etambulira ku mateeka ki Center for Constitutional Governance agambye nti kikyaamu omuntu okufuna akasiimo akasuka mu mulundi ogumu, n’agamba nti embeera eno yesinze okuleetawo omuwaatwa omunene wakati wa bannauganda nga besigama ku byenfuna yabwe.
Munnamateeka Medard Lubega Ssegona era omubaka wa Busiro East , agambye nti parliament bwekomawo okuva mu luwummula lw’ennaku enkulu, agenda kufuba okulaba nti etteeka erifuga akasiimo kabaliko abakulu mu government likyuusibwa okugyawo ekyabakulu okufuna akasiimo akasuka mu mulundi ogumu.
Eky a parliament okugulira abaaliko ba sipiika n’abamyuka babwe emmotoka kapyata ate ng’abantu bebabmu government ekyabalabirira mu mbeera zonna, yalese banauganda n’ebibuuzo ebyenjawulo.
Kinnajjukirwa nti government bweyali eteekateeka embalirira eyomwaka gw’ebyensimbi 2023/2024 ogugenda mu maaaso, abakulu government bakisimbako essira nti tegenda kugula mmotoka mpya, olwebyenfuna byeggwanga ebitali bulungi.
Julius Mukunda ssenkulu w’ekitongole kyobwannakyeewa ekirondoola embalirira y’eggwanga ki Civil Society Budget Advocacy mwenyamivu olwakyayise obulimba obwenkukunula obuli mu government.
Agambye nti ekyakoleddwa kyoleka lwatu nti waliwo obulimba bungi obugenderera okuwuddiisa bannauganda, nti era abakulu kyeboogera SSI kyebakola.
Abamyuuka ba president, ba sipiika ba parliament nabamyuuka baabwe ,ba Ssabalamuzi b’eggwanga nabamyuuka baabwe saako Ssabaminisita w’eggwanga bonna nga baawumula, government ebagulira emmotoka kapyata buli luvanyuma lwamyaka ettaano.
Balina era okubasasula omusaala buli mwezi, n’okubawa ensako ebalabirira.
Abakozi babwe ab’enkizo nabo government ebasasula emisaala okuli ba ddereeva, abayambi babwe n’abalala.#