Bannamateeka okuli Henry Byansi ne Micheal Aboneka basazeewo okuddukira mu mbuga z’amateeka, nga bagala kooti eyimirize endagaano y’okutunda emmwanyi eyakolebwa wakati wa government ne kampuni ya Uganda Vinci coffee company ltd.
Bannamateeka bano nga nabo balimi ba mmwanyi bawawabidde ssaabawolereza wa government ne kampuni eno, nga bagamba nti wandiba nga waliwo amankwetu agaakolebwa mu kukola y’endagaano eno ekkiriza kampuni emu yokka okugula emmwanyi ku bannauganda.
Endagaano eno ey’obuwumbi bwa shs 284, yakolebwa nga 10 February, 2022.
Yassibwako omukono minister w’ebyensimbi Matia Kasaija ne musigansimbi omukyala Enrica Penneti nnyini kampuni ya Vinci coffee company, nga ye kampuni yokka eteekeddwa okugula emmwanyi ku bannauganda ezoongereko omutindo era azitunde mu mawanga ga Bulaaya ne Middle east.
Ssaabawolereza wa government Kiryowa Kiwanuka yabadde ku parliament n’agamba, nti endagaano eno tagirabamu buzibu era government sinnetegefu kugikyusa.
Wabula minister w’okusiga ensimbi Evelyn Anite agamba nti endagaano eno erina okuddamu okwetegerezebwa obuwaayiro obumu bukyusibwe.
Wano bannamateeka webasinzidde nebagenda mu kooti nga bagala eyimirizibwe bunnambiro.
Endagaano eno eyasembyeyo okukolebwa omwaka guno, yabadde nnyongereza ku buwaayiro obulala obuli mu ndagaano ezaasooka okukolebwa mu April wa 2015 ne October wa 2017 wakati wa government ne kampuni eno eya Vinci coffee company ltd ku nsonga yemu.