Bannamateeka baddukidde mu kakiiko k’eddembe ly’obuntu, nga bagala kabeeko kyekakola ku basirikale b’ebitongole ebikuuma ddembe olw’okutta bannauganda ababeera bateberezebwa okuzza emisango egyenjawulo nga tebasoose kutwalibwa mu kooti.
Bannamateeka bano begattira mu bibiina ebyenjawulo okuli Uganda Muslim Lawyers Association, Uganda Christian lawyers’ fraternity, Muslim Center for Justice and Law and the Network for Public Interest Lawyers (NETPIL) bagala akakiiko k’eddembe ly’obuntu kasooke kunonyereza ku nsonga z’a basajja abattiddwa ebitongole by’okwerinda, nga bigamba nti bayeekera ba ADF.
Basabye ssentebe w’akakiiko Mariam Wangadya asooke kuyita abasirikale kinnomu abagambibwa okwenyigira mu ttemu eryo bennyonyoleko ng’amateeka bwegalagira.
Bawadde eky’okulabirako ekya Sheikh Abbas Kirevu , eyattibwa abasirikale abaali bagenze okumukwata mu maka ge mu bitundu bya Kyengera town council,ku bigambibwa nti yenyigira mu lukwe lw’okutendeka abaatega bbomu mu Kampala omwafiira abantu 7 n’abalala abasoba mu 30 nebagenda n’ebisago eby’amaanyi nga 16th November 2021.
Bannamateeka bano bagamba nti ebitongole ebikuuma ddembe okutta abateeberezebwa okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka awatali kubatwala mu kooti, kubeera kuyisa lugaayu mu ssiga eddamuzi.
Bagamba nti ne ssemateeka w’eggwanga ekitundu No. 22(1) kagamba nti tewali muntu ateekeddwa kusanyizibwawo bulamu bwe, okuggyako nga kooti yemusalidde.
President w’ekibiina ki Uganda Muslim Lawyers Association Ali Kankaka ne Muslim Center for Justice and Law Umar Nyanzi bagamba nti obusiraamu ddiini ya mirembe, ebikolwa eby’obutujju tebikkiririzaamu, nti naye mu kiseera kino abayeekera ba ADF abakwatibwa bazze bateeberezebwa okuba nga berimbika mu kusomesa eddiini nebakola obutujju okusiiga obusiraamu enziro.
Bagamba nti okuva mu mwaka gwa 2021 abasiraamu bangi bazze bakwatibwa nebasibibwa mu makomera n’abandi okuttibwa, buli lwewabaddewo abanene mu gavumenti abattibwa okuli Eyali omwogezi wa poliisi Andrew Felix Kaweesi, eyali omubaka wa Lira municipality Ibrahim Abiriga n’abalala.
Ssentebe w’akakiiko ka human rights commission Mariam Wangadya abasuubizza okutunula mu nsonga zabwe abeeko kyakola.