Bannamateeka ba FDC abakulembeddwamu lord mayor wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago bakedde mu kooti, bagenze kusaayo kusaba kwabwe okw’okweyimirira abakyala ba FDC abaakwatiddwa olw’okwekalakaasa nga bavumirira ebbeeyi y’ebintu.
Police yategezezza nti abakyala bano webaabaakwatidde mu bitundu bye Mulago baabadde bakuma omuliro mu bantu, era olwabakutte nebatwala mu kkooti.
Omulamuzi wa kooti etuula ku ttendekero ly’amateeka erya Law Developmemt center Augustine Alule yabasindise ku alimanda mu kkomera e Luzira gyebaasuze.
Abakwate kuliko Anna Adeke Omubaka omukyala akiikirira District ye Soroti mu Parliament, Doreen Nyanjula omumyuka wa Lord Mayor wa Kampala, Alice Amony nábakyala abalala.
Omulamuzi yabagaanye okweyimirirwa, nti bannamateeka babwe baabadde bakututteyo kikeerezi.
Mu balala abaasindikidwa e Luzira kuliko Madamda Wokuri, Susan Nanyonjo, Mariam Kizito nga nabo baakwatidwa mu kibuga Kampala, nga bagezaako okulaga obutali bumativu bwabwe ku mbeera eri mu ggwanga nókusingira ddala ebbeeyi ye bintu ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo eyekananye .
Bino webyajjidde nga neyali president w’e kibiina kino kati omukulembeze we kisinde kya Peoples’ Front for Transition Dr Col Kiiza Besigye akyali mu kkomera e Luzira misango gyegimu egyókukuma mu bantu omuliro bekalakaase olw’ebbeeyi y’ebintu.
Besigye yali akkiriziddwa okweyimirirwa ku kakalu ka kooti ka bukadde bwa shs 30 ez’obuliwo,wabula nagaana okuzisasula nti kubanga zaali zigenderedde kumunyigiriza.
Munnamateeka w’abasibe bano era Lord Mayor wa Kampala Salongo Hajji Erias Lukwako ategezezza nti balina essuubi nti abantu babwe bagenda kukkkirizibwa beyimirirwe.