Alipoota ekwata ku mbeera ya bannamagoye mu Uganda eraze nti ebitundu 20% ku bbo tebaasoma ssonga nábaana abato tebatwalibwa mu masomero, olwokuboolebwa okusukkiridde.
Alipoota eno eyitiddwa Spatial mapping and profiling of persons with Albinism, eraze nti Uganda erina bannamagoye abasukka mu 1000.
Ebitundu 57% abali mu Uganda basibuka mu district ye Luwero.
Ebitundu 48%beebalina empapula eziweza obuyigirize bwa primary.
Ebitundu 26% bebalina ebiwandiiko bya siniya eyokuna.
Ebitundu 12% bebalina obuyigirize obwa University.
Bannamagoye ebitundu 72% tebalina gaalubindi zibabikka mu maaso okubasobozesa okulaba obulungi.
Ebitundu 80% balina obuzibu bwóbutalaba bulungi olwokukosebwa omusana, ate ebitundu 70% tebagendanga kweekebeza ku maaso.
Ssentebe wÓmukago ogutaba bannamagoye mu Uganda Olivia Namutebi yeyayanjudde alipoota eno yaabadde ku hotel Africana mu Kampala.
Namutebi asabye government okunyweza amateeka agakwata ku bannamagoye ganyweezebwe.
Bagala eddagala lyebakozesa ku nsusu zabwe lisembezebwe ku malwaliro ga Health Centre 4, nÓkubawagira okusoma awatali kusumbuyibwa nakusosolwa.
Mu January wa 2020,parliament ya Uganda yasaawo olunaku olwenjawulo, okumanyisa abantu bonna embeera bannamagoye gyebayitamu, era neesuubiza okubaako ekikolebwa.