Bannakyewa wamu n’ebitongole by’obusuubuzi ebyenjawulo batongozza kaweefube w’okulondoola omutindo gw’ensigo z’emmere mu bitundu bya Uganda ebyenjawulo, nékigendererwa ekyokufulumya ebirime ebituukanye n’omutindo mu butale obuli ebweru wa Uganda.
Entekateeka eno ng’evujjiriddwa gavumenti ya Bungereza , egendereddwamu okulondoola omutindo gw’ebirime ebitundibwa ebweru wa Uganda, naddala nga biva mu district eziri ku nsalo za Uganda.
Ekitongole kya Trademark East Africa ne SEATINI Uganda byebiweereddwa obuvunaanyizibwa okwekeneenya Omutindo gwÉbirime ebifuluma eggwanga, nga omulimu guno gutongolezeddwa mu Kibuga Gulu.
Ezimu ku district ezigenda okulondoolwa kuliko Lira awava Entungo, Amuru , Gulu, Nakaseke ne Masindi awava Kasooli ne district endala nyingi.
Bwabadde atongoza Entekateeka eno mu Kibuga Gulu, Jane Nalunga ssenkulu wÉkitongole ekitabaganya Amawanga mu by’Obusuubuzi ki SEATINI Uganda, agambye nti kino kikoleddwa okutangaaza emikisa gya Uganda okutunda Emmere mu butale obwenjawulo okwetoloola ensi yonna, naasaba abalimi okwekeneenya ennyo Omutindo.
Jane Nalunga ategeezezza nti ssinga enteekateeka eno essibwa mu nkola, abalimi n’abasuubuzi b’ebirime baakufunamu kinene.
Enteekateeka eno wejidde nga waliwo okutya nti omutindo gw’ensigo ezisigibwa abalimi za mutindo gwa wansi, ekibaviirako amakungula okubeera amatono, n’okusigala mu bwavu obutakoma.
Bisakiddwa: Kato Denis