Bannakyewa abatakabanira okukuuma ekitiibwa ky’amaka mu ggwanga mu mukago ogwa Family Life Network, batongozza kawefube agendereddemu okulwanyisa omuze ogw’omukwano ogw’ebikukujju.
Basinzidde Kololo gyebalangiriridde nti amawanga gaabazungu gongedde okuteeka akazito ku Uganda nekubakulembeze nga geekwasa ekyokuyisa etteeka erikugira omukwano ogwebikukujju, kyali kiruubirirwa kya government naabakulembeze bokka, nti nga banna Uganda tebaakirimu era tebeebuzibwako.
Wabula bannakyewa abatakabanira amaka mu mukago Family Life Network, bagamba nti kawefube w’okunonnya emikono ejiwera akakadde kalamba okwetoloola eggwanga, wakulaga amawanga gaabazungu nti banna Uganda nabo tebakiriziganya namuze guno era baguwakanya.
Steven Langa, ssenkulu w’omukago gwa Family Life Network, agamba nti enteekateeka eno etandikiddwako era bakutegekayo n’okukumba okwenjawulo okwongera okulaga amawanga gaabazungu obutali bumativu eri omuze guno gwebaagala okukaka ku Uganda.
Bagamba nti eteeka eryayisibwa terimala nti era government erina okwongera okuteekawo ebikwekweto ku muze guno kuba abantu bagukolera mu nkukutu, era nti abaana b’eggwanga okuva mu masomero bakyayingizibwa mu bikolwa ebyo.
Parliament yayisa eteeka erikugira omukwano ogwebikukujju era lino omukubiriza wa parliament Anita Annet Among, yagamba nti kino yaliwaayo eri banna Uganda ng’ekirabo, oluvanyuma lwokukola ennongosereza mu buwayiro 5 president bweyali yeemulugunyaako nga tanaliteekako mukono.
Eteeka lino lyayisibwa parliament nga 2 May,2023 era mu mwezi gw’egumu nga 30 president Museven naalisaako omukono. Kimenya mateeka okukwata oba okusanga omuntu yenna eyenyigira mu kikolwa kino oba okusikiriza n’okukiyingizaamu omuntu omulala yenna.
Bisakiddwa: Ddungu Davis