Ababaka ba parliamnet abatuula ku kakiiko akalondoola ensaasaanya y’ensimbi z’omuwi w’omusolo bagugumbudde era nebakunya omuteesiteesi omukulu mu ministry y’ebyensimbi nga yavunanyizibwa ku ggwanika ly’eggwanga Ramathan Goobi, olwokudduumulanga embalirira y’eggwanga songa eggwanga teririna nsimbi zigiwanirira.
Akakiiko kabadde kasisinkanye abakulu mu ministry y’ebyensimbi abakulembeddwamu Ramathan Goobi yennyini okutangaaza ku vvulugu eyanokolwayo ssabalondoozi w’ebitabo bya government.
Ebibalo ababaka byebanokoddeyo , biraze nti mu mwaka 2021/2022 embalirira y’eggwanga yali ya trillion 45,mu mwaka 2022/2023 yalinnya netuuka ku trillon 48, olwo mu mwaka 2023/2024 yalinnyisibwa netuuka ku trillion 52.
Akakiiko kakitegedde nti tewali mwaka n’ogumu embalirira eyo lweyali etuukiridde, olwa government okubulwa ensimbi ezigituukiriza era ebintu bingi nebisigala nga tebikoleddwa.
Wano ababaka ku kakiiko webasinzidde okunenya n’okugugumbula omuteesiteesi omukulu mu ministry y’ebyensimbi Ramathan Goobi olwakyebayise obulimba obukwekebwa mu mbalirira y’eggwanga erage ng’ebyenfuna by’eggwanga ebikula songa embalirira badduumula ndumuule mu bigambo nga tewali nsimbi zakugiwanirira.
Ramathan Goobi mu kwanukula anenyeza bannabyabufuzi okuli essiga effuzi erya Executive ne parliament bagambye nti bawamba obuyinza bwakugu mu kuteekerateekera eggwanga nebezza obuvunanyizibwa bwokukoka embalirira nti kyekivaako ttagali yenna.
Wabula ababaka ku kakiiko kano abakulembeddwaamu ssentebbe waako Mohammed Muwanga Kivumbi tebabadde basanyufu nebyogeddwa Ramathan Goobi, bagambye nti bulimba bwennyini nti kubanga bwebaba bategereza embalirira y’eggwanga basinziira ku bibalo government byetwalira government nebaako amagezi geewa era neyisibwa.
Ggoobi agambye nti ekiseera kyatuuka dda eggwanga libalirire era liteeketeeke byerisobola okuwanirira nga tebyesugamiziddwa ku byabufuzi, eby’okudduumula embalirira y’eggwanga nga tewali nsimbi zigiwanirira bikome.