Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okulabikako eri Obuganda, aggulewo empaka z’emipiira gy’ebika by’Abaganda ez’Omwaka guno 2022, mu ssazalye Bulemeezi.
Bazzukulu ba Mutasingwa abeddira Embwa bagenda kuttunka ne bazzukulu ba Mutesaasira ab’Engo mu mupiira ogwebigere n’Okubaka ku lwomukaaga luno nga 11 June mu kisaawe kye Kasana mu Bulemeezi.
Omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda Owek Dr Haji Twaha Kigongo Kawaase ,asabye abantu ba Beene okumanya nti okusasaana kw’akawuka ka Covid 19 kukyaliwo, n’abasaba obutalekaayo bukookolo mabega nga bagenda okuwagira omupiira.
Ssentebe w’Olukiiko oluteesiteesi olw’empaka z’amasaza Katambala Haji Sulaiman Magala agambye buli kyetaagisa okuggulawo empaka zino kikoleddwa, era nga n’ekisaawe kye Kasana Kiri mu mbeera nnungi ddala.
Omwami wa kabaka ow’eggombolola ya Mumyuka Nsege Butuntumula omuli emikolo gino, Ali Musa Kirumira, asabye abalyannaka okujjumbira enteekateeka y’okuleeta amakula okulaga Omuteregga essanyu.
Ensitaano wakati w’Engo n’Embwa egenda kutandika kusaawa 9 ez’olweggulo,naye nga wakusookawo omupiira ogw’okubaka.
Okuyingira mu kisaawe e Kasana okulaba omupiira kwa shs 5000.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe