Bya Ddungu Davis
Ministry y’eby’ejigiriza esazeewo okuwa abadde sipiika wa parliament Jacob Lokori Oulanya, ekitiibwa ky’obwa Doctor, ng’akabonero akookumusiima olwóbuweerezabwe.
Minister omubeezi ow’eby’enjigiriza avunanyizibwa ku matendekero agasookerwako, Dr. Joyce Moriku Kaducu,yayanjudde enteekateeka eno, mu lukiiko lwábakulembeze ba government ezébitundu abava mu bitundu bye Lango olutudde mu maka géomugenzi agabadde azimba e Lalogi..
Ssentebe w’akabondo k’ababaka ba paalamenti abava mu district ezikola ebendobendo ly’obukiiko kkono bwa Uganda, aka Northern Uganda parliamentary forum, Anthony Akola, naye aleese ekiteeso nti ng’ayagala ekittavvu kya Jacob Oulanya Trust Fund, ssente ezikiteekebwamu zibe nga zaakuyambako abantu abava mu bendobendo lino bokka, okukwasizaako abaana abaasoomozebwa olutalo lwa Kony.
Mu ngeri yeemu Olukiiko lwábakulembeze ba government ez’ebitundu olwetabiddwamu district 30, ebibuga 3 okuli Arua, Lira, Gulu, ne municipaali zonna, ezikola ebendobendo ly’obukiika kkono bwa Uganda, luyisizza ebiteeso ebyokusiima abadde sipiika wa parliament wa Uganda Jacob L’okiri Oulanyah mu ngeri eyenjawulo.
Abadde sipiika wólukiiko luno era ye sipiika wa district ye Omoro, Odongo Damascus.
Ebiteeso ebiyisiddwa; ebitundu ebyo birina okubaako enguudo zebabbulamu erinnya ly’omugenzi Oulanyah, ng’akabonero ak’okumujjukira n’ebirungi byakoze okugatta abantu mu bendobendo eryo.
Bagala wassibwewo ekifananyi ekyenjawulo ekinaasooka okukakasibwa akakiiko ka parliament aka parliamentary commission, kiteekebwe mu buli wofiisi ya government ez’ebitundu zonna mu bendobendo eryo, okuva ku district okutuuka ku LC esooka, ez’ebibuga ne municipaali okwongera okumujjukira.
Ba kansala bano era bagala wabeewo n’okutongoza kawefube w’okusimba emiti mu ngeri eyeekikungo okwetoloola district zonna ku lunaku lwerumu, olw’okujjukira nti omugenzi abadde ayagala nnyo okukuuma obutonde bwensi.
Olukiiko era lwagala eddwaliro erijanjaba kkokolo erizimbibwa mu Arua, libbulwemu erinnya lya Jacob Oulanyah, nti kuba abadde afaayo nnyo ku byobulamu era nga yafudde kirwadde kya kookolo ayitibwa Lymphoma.
Abakiise abetabye lu lukiiko luno, era bategezezza nti Oulanyah yakola kinene okusobozesa government okwongeza embalirira y’ebyobulamu okutuuka wakiri ku bitundu 9%.
Mu ngeri yému bagala embalirira yébyóbulamu era eyongezebwe wakiri etuuke ku bitundu 20%.
Baagala n’ensawo y’ekittavvu ekyatandikiddwawo ekya Oulanyah Trust Fund, okutandika nómwaka ogujja government ebeeko omutemwa gwessaamu okukwasizaako abankuseere.
Ebiteeso bino bireeteddwa ssentebe wa district ye Omoro, Okello Peter Douglas, mu lutuula olwenjawulo lwebatuuzizza mu luggya lw’amaka galikwoleka, omugenzi Jacob L’okori Oulanyah gaabadde azimba mu district eno eye Omoro.
Ebiteeso bino bisembeddwa abakiise abavudde mu bendobendo lya Acholi, Lango ne West Nile.
Ayama Ben ssentebe wa district ye Adjumani yabisembye.
Ate ku lw’abatuuze abava mu district eziva mu West Nile, Baada Emmanuel Nunu yabisembye, kansala akiikirira abantu b’e ggombolola ye Moyo mu district yeemu ku lwa Abacholi, ne kansala wa district ye Omoro ne Gasper Okello, kansala w’ekitundu kya Otuke ku lukiiko lwa district eziri mu bendobendo lye Lango.
Omubaka omukyala akiikirira district ye Kole mu paalamenti, era ssentebe w’akabondo k’ababaka abava mu district ezikola ebendobendo lye Lango, Judith Alyeke, asanyudde ebiteeso by’olukiiko, nalusaba luyise nékiteeso nti abantu bonna balekere omu ku baana b’omugenzi Oulanyah, yaaba amuddira mu bigere ngómubaka wa Omoro ng’akabonero ak’okumusiima mu by’obufuzi.
Wabula sipiika wólukiiko Odongo Damascus, kino akigaanye agambye nti olukiikolwe terurina maanyi nabuyinza okusalawo ku nsonga eno, kyokka nti abantu mu kitundu kye Omoro bakukirowoozaako.
Olukiiko luno lwetabyemu amyuka sipiika wa parliament Thomas Tayebwa, Ssaabalamuzi wéggwanga Owiny Dollo, abóluganda lwa Oulanyah n’abatuuze.