Abaddu ba Allah abayisiramu bakubiriziddwa okusoosowa abakadde babwe nga babatuusaako ebintu ebikozesebwa mu mwezi omutukuvu ogwa Ramadhan naddala eby’okusiibulukuka.
Ramadhan y’empagi ey’okuna ku mpagi ettaano okuzimbiddwa eddiini obusiraamu.
Immam omukulu ow’omuzikiti gwe Kibuli, Sheikh Abdul Salaam Mutyaba, akinoganyiza nti okusoosowa abakadde mu mwezi guno ogwa Ramadhan mulimu empeera nenne ddala.#