Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwékigwo mu Uganda ekya Uganda Wrestling Federation, kikakasizza abazannyi 2, abagenda okukiikirira Uganda mu mpaka za Commonwealth Games ezigenda okubeera e Birmingham Bungereza omwaka guno.
Abazannyi bano ye Ayo Veronica azitowa kilo 57 ne Ntuyo Jacob azitowa kilo 74.
Abazannyi bombi mu kiseera kino batandise okutendekebwa ku Kasubi Physic Gym, n’abatendesi Masakwe Ivan ne Shamim Nakayenga.
Uganda mu mpaka za Commonwealth Games egenda kukiikirirwa mu mizannyo egiwerako okuli ekigwo, okusitula obuzito, okuwuga, Table Tennis, okubaka, omisinde némirala.
Empaka za Commonwealth Games zigenda kubeerawo okuva nga 28 July okutuuka nga 8 August omwaka guno 2022.
Bisakiddwa : Issah Kimbugwe