Abakulistaayo mu kanisa y’e Nkozi mu busaabadinkoni bwe Nabusanke mu Central Buganda diocese mu district ye Mpigi bali mukwewunaganya, olw’abantu abatanategereka abagenze ku kkanisa yabwe nebagibambulako amabaati gonna nebagatwala.
Ekkanisa eno eyitibwa Nkozi Chapel nga yesomeramu abayizi ba university ye Nkozi Abakristaayo.
Ssabadinkoni w’obusabadinkoni bwe Nabusanke Can William Muwonge agambye nti tebanategeera kigendererwa kyabantu abakoze ekikolwa kino.
Bisakiddwa: Yoweri Musisi