Abantu abawerako basimatuse okufiira mu kabenje bus No. UBE 363P eya Kampuni ya Friendship mwebbadde batambulira egudde neyefuula.
Akabenje kano kaguddewo mu kiro, nga kigambibwa nti Bus eno ebadde eva mu bitundu bye Juba ng’eyolekera Kampala.
Ddereva yekanze ekimotoka ekibadde kisimbye ku kkubo,bwagezezaako okukiwugula bus nemulemerera najikuba ekigo.
Akabenje kano kagudde mu kitundu kye Naluvule mu Luweero.
Abatuuze b’ekitundu bebayambyeko okudduukirira abagudde ku kabenje, era bus endala endala ereeteddwa neyongerako abasaabaze okubatuusa e Kampala, saako abalumiziddwa police nebaddusa mu malwaliro.
Wabula abatuuze obuzibu obuvuddeko akabenje kano babutadde ku bimotoka ebinene ebisimba ku nguudo obudde obw’ekiro nga tebirina mataala nti byebivaako obuzibu.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif