Akabinja k’abayeekera abatanategerekeka balumbye Bus ya Kampuni Bebeto No. SSD 089Z ebadde esaabaza abantu okuva mu kibuga Juba e South Sudan okudda mu Uganda nebajisasira amasasi, omuntu omu yeyakakasibwa nti afiiriddewo abalala badduse n’ebisago eby’amaanyi nebabulira mu nsiko.
Obulumbaganyi buno bubaddewo ku makya nga 24 September,2024.
Abayekera ab’emmundu Bus eno bajiteegedde mu katundu akamanyiddwa nga Lakarakak wakati wa Lyerjebe ne Kubi.
Kigambibwa nti abayeekera bano bavudde mu nsiko nebatandika okugisasira amasasi.
Abamu ku bakaawonawo bategeezezza nti amasasi bwegatandiise okuvuga abantu abasinga bayise mu madirisa nebesogga ensiko, olwo abayeekera bus nebajiteekera omuliro.
Abamu kubaddukirize baddusiza abantu mu kabuga akali okumpi aka Aruu era omu ku basawo mu kabuga kano abogeddeko ne cbs bategezeza nti mu ddwaliro lino bafunyeeyo omuntu omu akubiddwa amasasi naye nga abategezeza nti abalala bakyaali mu nsiko gyebekukumye n’ebisago eby’amaanyi.
Yiga Ashton omu ku bakulembeze baba conductor abatambulira ku Bus zino ,agambye nti abantu 12 bokka bebaakazuulwa ku bantu 43 ababadde ku Bus eno abalala bakyabanoonya.
Yiga agambye nti abantu abasinga abafunye ebisago baddusibwa mu ddwaliro e Gulu.
Cbs ekitegedeko nti eggye lya UPDF liyiye basajja baalyo ku nsalo ya Uganda ne South Sudan okwekebeggya buli muntu ayingira Uganda.
Omwogezi w’ekibinja eky’okuna mu ggye lye ggwanga elya UPDF Maj Peter Mugisha ategezezza cbs nti bakyetegereza embeera n’okuzuula ebibaddewo nga obulumbaganyi buno bukolebwa,nti naye ekikyali ekizbu kwekuba nga obulumbaganyi buno bubadde bweru wa Uganda, nga n’olw’ekyo kyanditwala akabanga akawera okuzuula ekituufu.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif