
Omuzira: Nanteza Grace aweza egy’obukulu 52, mutuuze w’e Maanyi mu Busujju, mulimi wa buli kirime.
Yeddira Ffumbe.
Azaalibwa abagenzi; Ssengendo Francis ne Nakacwa Rose abaabeeranga e Buwalantaama Busiro.

Omuzira: Ssemiyingo Ibrahim, wa myaka 27, yeddira Nte, asibuka Kakuuto-Kyotera Buddu.
Azaalibwa Ssaalongo Ssemiyingo Asuman ne Nnaalongo Nagaddya Yudaaya.
Yasoma essomo lya Development Economics okuva e Makerere University.

Omuzira: Miyingo Misearch wa myaka 39, yeddira Nte, abeera Lwentulege Kkooki.
Azaalibwa abagenzi; Balengera Edon Kamu Mbajo ne Nakago Mmeere.
Mulungamya wa mikolo.
Ayagala nnyo okunoonyereza.

Omuzira: Kafeero Paul wa myaka 34, yeddira Nkima asibuka Bisanje Kyotera Buddu.
Musuubuzi.
Azaalibwa abagenzi Kiggundu John ne Naddumba Jascent.
Ayagala nnyo okuweereza mu Eklezia era muyimbi mu Choir ya Holy year Choir Kyotera Parish.
Abazira abalala ye Kalyango Farouk.
Yeddira Ngo.
Ava mu ssaza Bugerere.
Omuzira Omulala ye Kizito John Lukoma
Yeddira Mmamba.
Yeddira Mmamba.
Omuzira mu bazira w’Entanda Diaspora 2024 George William Kizito.
Muzzukulu wa Nankere, yeddira Mmamba.
Emirimu gye agikolera Qatar
Bamuzaala Kamenyamiggo Bukomansimbi mu ssaza Buddu.#