Ba ssentebe be byalo ebyenjawulo mu gombolola ye Lubaga batadde ku nninga ekitongole ekiddukanya ekibuga Kampala ki KCCA okunyonyola ensonga eviraako abakozi ba enforcement okukwata n’okubowa emmali y’abatuuze nebatuuka n’okusindikibwa mu komera.
Mu nsisinkano ebadde ku gombolola e Lubaga ba ssentebe bekokodde abaserikale ba KCCA abagufuula omugano okutigomya banna Kampala naddala abakolera emabbali w’enguudo, nga negyebuddeko KCCA yayisizza ekiragiro eri abantu bonna abalina obuyumba ku nguudo okubuggyako basentebe bano kyebawakanya
Nga bakulembeddwamu ssentebe wa bassentebe abatwala ebyalo mu Lubaga Evelyn Nakiryoowa bawanjagidde KCCA eddirizeemu kubukwakkulizo bweteeka ku bantu
Balabudde banna Lubaga okukomya okuyiwa Kasasiro nekazimbi mu myala kubanga kyandiviraako okubalukawo kwe ndwadde eziva ku bukyafu.
Wabula Mayor wa Division ye Lubaga Zakie Mawuya Mberaze asabye abantu mu Lubaga okubeera abagumikiriza olw’enguudo ezisinga obungi eziri mu mbeera embi, nagamba nti kawefube w’okuziddaabiriza agenda mu maaso.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius