Police mu district ye Namutumba ekutte ba sentebe be byalo basatu abagambibwa okuba nti babadde bagufudde omuze okukozesa obubi stamp z’ebyalo.
Bakwatiddwa ku kiragiro kya RDC Matende Thomas, oluvanyuma lwokukizuula nti bazze bateeka stamp ku ndagaano z’okutunda ezenjawulo ku ttaka lye limu.
RDC Matende agamba nti enkola yabwe enkyamu eviiriddeko enkaayana z’ettaka okweyongera mu district buli olukya.
Abakwate kuliko owa Namutumba Town council, owe Nawaikona ne Kagulu bakuumirwa mu kaduukulu ka police e Namutumba nga okubanonyerezaako bwekugenda mumaaso.
Alabudde nabakulembeze be bitundu abalala okwewala okukola kyayise vulugu mu byettaka nagamba nti wofiisi ye terina gwegenda kuttira ku liiso.
Bisakiddwa: Kirabira Fred