Olutalo lubaluseewo buto mu bakulembeze be kibiina kya Forum For Democratic Change oluvanyuma lwa bamu kubasentebe ba District ezenjawulo mu kibiina kino okugaana okuzaayo Stamp z’ekibiina nókuwaayo Office mwebabadde bakakkalabiza emirimu.
Mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa ssaabawandiisi wa FDC ekiwayi kye Najjanankumbi Nathan Nandala Mafabi, yalagidd ba ssentebe ba District bonna mu kibiina kya FDC okuwaayo stamp ze kibiina kino saako okuwaayo Office mwebabadde bakolera emirimu gyabwe.
Baawereddwa obutasukka 17th November 2023, okusobozesa ba Sentebe b’ekibiina abaakalondebwa okukakkalabya nókutwala mu maaso emirimu gy’ekibiina.
Mu kiwandiiko kino era ssabawandiisi Nandala Mafabi alagidde ba ssentebe ba District omutaategekebwa kulonda kwe kibiina okwakolebwa mu July ne August 2023, okutwala Stamp zaabwe mu Office ye esangibwa ku kitebe kye kibiina kino e Najjanankumbi obutasukka ennaku zómwezi 17th November,2023.
Nandala Mafabi era mu kiwandiiko ategezezza nti singa wanabaawo omuntu yenna agyemera ekiragiro kino wakuvunanibwa mu mbuga z’amateeka olwókulemera ebintu by’ekibiina.
Wabula ssentebe wa FDC mu District ye Mityana Kintu Anthony ategezezza nti e Mityana tewali kulonda kwonna kwategekebwa kibiina kya FDC, era mukaseera kano tewali muntu yenna gwebagenda kukwasa office okutuusa nga bafunye ekiwandiiko ekiva mu bukulembeze bwe kibiina obutuula ku Katonga road.
Ssentebe w’ekibiina kya FDC mu District ye Mubende Luyima Jurius agambye nti ekiwandiiko ekyafulumiziddwa kyavudde mu office etamanyiddwa mu mateeka g’ekibiina nti kubanga yaggibwamu dda obwesige nga kati talina buyinza bukungaanya Stamp z’ekibiina.
Nakibinge Edward Wasajja ssentebe w’ekibiina kya FDC e Kassanda ategezezza nti tebagenda kuwaayo office zino okutuusa nga ekibiina kitegese okulonda okuli mu mateeka.
Omwogezi wa FDC ekiwayi ekituula e Najjanankumbi John Kikonyogo ategezezza nti singa bannakibiina bano balemwa okuzza Stamp ze kibiina mu mirembe bakukozesa omukono ogwekyuuma okuzizza ku mpaka.
Bisakiddwa: Ssebuliba William