President Yoweri Kaguta Museveni awagidde enkola eyÉkifirika eyókugonjoolamu emirerembe nóbutakkaanya.
President yeeyamye okuteeka sente mu kitongole ekiramuzi kigundiize enkola eyo, nti kubanga ya nkizo nnyo bwogerageranya ne kkooti eziriwo ezaaleetebwa ba Kyeruppe.
Obubaka obwo president Museveni abutisse omumyuka we Jessica Alupo, amukiikiridde mu kuggulawo olukungaana lwábalamuzi okuva ku lukalu lwa Africa olwénnaku 2.
Olukungaana luno lutudde mu Kampala Uganda okuteesa ku nkola yÁbafirika eyóbuwangwa, mwe baatuulizanga kkooti zabwe nebagombolola emisango nénsonga endala ezaagulumbyanga ebyalo.
Museveni mu bubaka bwe akinogaanyizza nti kkooti ezo Enfirika nnungi nnyo, temuli kudiibuuda sente, abantu bafuna mangu obwenkanya olw’ emisango obutakaandaalirira.
Asabye ekitongole ekiramuzi kirowooze ku kutongoza enkola eyo, olwókukendeeza omujjuzo gwémisango egivundira mu kkooti enzungu eziriwo.
Sssaabalamuzi wa Uganda Alfonse Owinyi Dollo ku lulwe agambye nti Bannayuganda batono ddala abeeyunira kkooti zino Enzungu.
Dollo asabye balamuzi bannaabwe ku lukalu lwa Africa, balowooze ku kutongoza enkola eno eyóbuwangwa mu kugonjoola emirerembe, nókutebenkeza emirembe mu bitundu.
Awadde ekyókulabirako ekyómu bitundu ebyóbukiikakkono ebyataagulwataagulwa olutalo lwa Kony, nti okuva lwerwakomekkerezebwa emyaka gisoba mu 18, nti naye abantu baayo tebafunanga bwenkanya yadde okubatabaganya, olwákasoobo akali mu kkooti zÁbazungu.
Ssaabalamuzi amenye emisango egisobola okugonjoolwa mu nkola eno eyóbuwangwa, omuli egyábantu okukuba bannaabwe, obwenzi, obubbi so ngáte egya nnaggomola ngéttemu oyo gwe gusinze alina okuliwa gamba ngókuwaayo emigongo gyÉnte.
Alaze essuubi nti olukungaana lwábalamuzi olwo we lunaatuukira okwabuka, banaaba bakkaanyizza ku ngeri yókutongozaamu enkola eno.
Ba ssaabalamuzi abeetabye mu lukungaana olwo ttabamawanga mwe muli owa Uganda, Botswana, Eswatini-Swaziland, Tanzania, Malawi ne South Sudan nga luyindira ku Mestil Hotel mu Kampala Uganda.
Bisakiddwa: Betty Zziwa