Ba sipiika abawera 23 aba parliament z’amawanga agaaliko amatwale ga Bungereza eza common Wealth , bebatuuse mu Uganda okwetaba mu lukungaana lwabwe olw’omulundi ogwa 27, olutudde mu Uganda okuva nga 03 January okutuuka nga 6 January 2024.
Okukuungaana luno olwatuumibwa the Common Wealth Speakers and Presiding Officers Conference ,lutaba abakubiriza ba parliament z’amawanga egaaliko amatwale ga Bungereza okuva mu ssemazinga z’ensi yonna.
Ba sipiika abaatuuse edda mu Uganda kuliko Moses Wetangula sipiika wa parliament ya Kenya, Jemma Nunu Lumbar sipiika wa Parliament ya South Sudan, Alban Sumana Kingsford Bagbin sipiika wa parliament ya Ghana ne Esperance Laurinda Francisco Nhiuane sipiika wa parliament ya Mozambique
Abalala Kuliko Thambu Tombola Chaha Skeleman wa Botswana ,Lukas Sinimbo Muha sipiika wa Namibia ,Nelly BK Muti wa Zambia ne Samoa Auuapaau Mulipola Alaitatua
Ba sipiika abalala Kuliko Leo Cato ne sipiika munne Dessima William okuva mu Grenada , Mohammed Aslam sipiika wa parliament ya Maldives saako Jahari Abdul ne sipiika munne Senator Wan Junaidi Tuanka Jaafar okuva mu parliament ya Malaysia n’abalala.
Sipiika wa parliament y’omakago gwa East Africa Joseph Ntakirutimana ne Dr Talia Ackson sipiika wa parliament ya Tanzania era president w’omukago ogutaba parliament yensi yonna ogwa Imterparliamentary Union (IPU) bebamu kubatuuse olwaleero.
Ba sipiika abalala abalindiriddwa kuliko sipiika okuva e Rwanda , Cameroon, south Africa ne Nigeria
Olukungaana luno olwa the Common Wealth Speakers and Presiding Officers Conference CSPOC, lwakuggulwawo mu butongole olunaku lw’enkya nga 04 January ,2024 nga Uganda yetegese.#