Baminister okuli ow’e Kalamoja Mary Gorret Kitutu ne mwannyina Michael Naboya n’omuyambi we Joshua Abaho, saako minister omubeezi ow’ensimbi Amis Lugoloobi basindikiddwa mu kooti enkulu ewozesa abakenuzi, batandike okuwennembe n’emisango gy’okwezibika amqbaati agaalina okuwebwa abanaku mu mitundu kye Kalamoja.
Omulamuzi Joan Aciro y’abasindise mu kooti enkulu, oluvannyuma lwa ssaabawaabi Jane Francis Abodo okutegeeza nti okunoonyereza kwonna kuwedde.
Ebimu ku bizuuliddwa biraga nti mu mbalirira y’ennyongereza eya 2021, obuwumbi bwa shs 39.9 bwebwayisibwa okugula amabaati n’embuzi z’abavubuka mu Kalamoja bekulaakulanye n’abalala abali mu bwetaavu.
Ensimbi zino zaali zakugula eminwe gy’amabaati omutwalo mulamba, era nga gaali kakugabibwa ku mukolo president Museven kweyatoongoleza enteekateeka eno ogwali e Moroto.
Kigambibwa nti mu kutegeka omukolo ogwo, omuyambi wa minister Joshua Abaho yasaba ensimbi zakugula amabaati 10,000.
Wabula ku mabaati ago baatwalayo 1000 zokka era president geyatongoza, 9000 tekaalabikako.
Mu June wa 2022 Amabaati ago 9000 kigambibwa nti minister Kitutu n’omuyambi we baasalao kugagabira abantu bebaali basiimye, omwali ba minister, bannabyabufuzi abalala, ab’oluganda n’emikwano.
Alipoota ya Ssaabawaabi egamba nti mu february wa 2023 government weyafunira amawulire nti waaliwo abantu abaali batembeeya amabaati ga government mu buvanjuba bw’eggwanga.m nesitukiramu netaandika okunoonyereza, era nga naagamu gaasaangibwa mu maka ga maama wa minister Maria Gorret Kitutu.
Ebiwandiiko bya ssaabawaabi ebitwaliddwa mu kooti biraga nti obuliwo bulaga nti Joshua Abaho yegabirako amabaati 5500, Michael Naboya Kitutu yafuna amabaati 100, minister Lugoloobi amabaati 700 era nti kyazuuka nga yali agaserese ku kiyumba ky’ebisolo byalunda n’abalala bangi abaaweebwa mu mabaati gano.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam