Ba minister abaggya batandise okubangulwa ku ntambuza yemirimu mu government mu kisanja kino 2026-2031 ,mu mussomo ogugenda mu maaso a Kyankwanzi
Okubangula kuno kuyindira Kyankwanzi mu bbanguliro lya government erya National Leadership Institute NALI.
Ba minister abaggya abakegatta ku lukiiko lwaba minister naabo abakadde abaddamu okulondebwa mu kisanja kino, bonna betabye mu kutendekebwa kuno.
Akulira abakozi ba government Lucy Nakyoobe era nga ye muwandiisi omukulu ow’olukiiko lwaba minister yakuliddemu enteekateeka eno, egenda okumala wiiki namba.
Ba minister bano bwebaali bakuba ebirayiro byabwe mu maaso g’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa,mu Maka gobwa president Entebbe, yategeeza nti okubangula kwaba minister kwabuwaze, SSI kwakyeyagalire era yalagira ba minister bonna babeereyo e Kyankwanzi
Mu kubangula kwaba minister kuno , president Museveni aliko ebiragiro byasuubira okuwa ba minisita ku ngeri yokutambuzaamu eggwanga ebitambulira ku mulamwa gw’ekisanja, kyeyatuuma kisanja tewali kwebaka ,kisanja tewali kulya nguzi.#












