Katemba yefuze olukiiko lwa KCCA ku city hall mu Kampala, abamu ku bakiikiridde kampuni ezaawebwa contract okukola enguudo bwebeemuludde nebabulawo nga bannabwe babasoya kajjogijjogi w’ebibuuzo.
Ababuzeewo babadde bakikiridde kampuni z’aba China ezenjawulo, nga mukusooka babadde 3, ababiri balabye munaabwe bamusoya ebibuuzo nga bimususeeko nebenulula mpolapola nebabulawo.
Ba kansala ba KCCA bagenze okubamagamaga nga tebalabikako, so nga n’abadde asigaddewo kigambibwa nti azuuliddwa ng’ebiwandiiko ebimukwatako ebimukkiriza okukolera mu Uganda bibadde byaggwako dda ekibaggye mu mbeera nebatandika okwecwacwana.
Amyuka ssenkulu wa KCCA David Luyimbaazi alabye bimusobedde, nayita police ezze embeera mu nteeko.
Ba kansala ba KCCA bazze bemulugunya ku buwanana bw’ensimbi ezissibwa kukukola enguudo mu Kampala, nga kigambibwa nti enguudo zino zezimu ku zisinga okuba ez’ebbeeyi mu nsi yonna.
Wano webaasinziira okuyita kampuni ezaawebwa contracts okukola enguudo ezo zinnyonyole engeri gyezaazifunamu, ensimbi zezaasaba, ensasaanya yaazo n’ebirala.
Mu lutuula lwa KCCA olwa leero kampuni 4 zonna zezibadde zikiikiriddwa, ate ababiri nebabulawo ng’ebibuuzo ebibadde bibabuuzibwa bibayinze.
Oluvannyuma embeera ezze mu nteeko abakiise nebayisa ekiteeso nti olutuula luddemu nga 30 March omwaka guno 2023, nebalagira ne kampuni ezaawebwa contract okukola enguudo okuleeta abantu abatuufu bannyonyole.#