Abantu 3 okuli ne munnamateeka w’omukibuga Kampala balagiddwa okuzza obukadde bwa shs obusoba mu 200, bwebaafera ku Rashid Ndawula nga bamuguza ettaka ery’empewo.
George William Salongo ne Chrispus Ssali nga ba Bbulooka ba ttaka, babadde bakozesa munnamateeka Kwesiga Bateyo okujingirira ebyapa by’ettaka eriwerako yiika 0.57, lisangibwa Lubowa nebaliguza Rashid Ndawula.
Kkooti ya Buganda Road ekuliddwa omulamuzi Sarah Tusiime ekalize Ssalongo ne munne Ssali bwebakola omupango guno emyaka 10 mu kabulamuliro, saako okuliyirira Rashid Ndawula gwebafera obukadde bwa shs 200.
Kyokka munnamateeka gwebakozesa okujingirira ebyapa Kwesiga Bateyo , alagiddwa okuliyirira Ndawula obukadde 26 nga ensimbi zino bwezimulema okusasula wakusibwa emyaka 5.
Okusinziira ku bujulizi, mu June 2019 bonsatule baafera Ndawula bwebamuwa ekyapa ky’ettaka ekijingirire naabawa obukadde bwa shs 330, kyokka bano bwebaalaba emisango gibazimbiridde, bakomyawo ensimbi ezimu,kyokka oluvannyuma nebeerema okusasula ezaasigala.
Bwebaalopebwa mu kooti emisango baajegaana, okutuusa obujulizi obubaluma webwaleetebwa, kkooti kwekubakaliga emyaka 10 gyebagenda okumala mu kkomera, n’okuliwa obukadde bwa shs 200.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam