Police bitundu by’e Busoga etandise omuyiggo ku kalibutemu ategeerekese nti ye Waiswa Katende agambibwa okutta omwana John Isabirye ow’emyaka 7 gweyabadde awambye, oluvannyuma lw’abazadde be okulemererwa okumusindikira ssente obukadde 3 omuwambi zeyabasabye.
Omwogezi wa Poliisi mu Busoga North, Michael Kasadha, agambye nti Katende omwana gweyawambye mutabani wa Muwodi Robert, omutuuze mu zzooni y’e Bulungu Busimba Ward mu Namwendwatown council, yamuwamba ku Lwomukaaga ekiro ekimalako omwaka 2022 ku ssaawa nga bbiri.
Khasadha agambye nti omwana yawambibwa anonye mazzi ku Nnayikondo okumpi newaka.
Katende yakubidde bazadde b’omwana n’abasaba ensimbi obukadde busatu, zebaatabadde bazo.
Oluvannyuma abatuuze beesonzeemu emitwalo ataano nebazisindikira Katende eyabalagiridde ewokusanga omwana mu ssamba y’ebikajjo, wabula baasanze mulambo.#