Omulamuzi wa kooti enkulu Isaac Muwaata agobye okusaba kwa Coporiyamu Kasolo, ateeberezebwa okukulemberamu okutemula Maria Nagirinya ne ddereeva we Ronald Kitayimbwa, ng’abadde ayagala kooti emuwe ebitabo byonna ebirimu amateeka ga Uganda gonna kwaba asinziira okwewozaako.
Nagirinya ne Kitayimbwa baawambibwa nga 28th August , 2019 Kibumbiro Zone e Lungujja, emirambo gyabwe negisangibwa e Kitutuli Mukono.
Kasolo yasooka kutegeeza nti tayagala kuwolerezebwa munnamateeka yenna, kati abadde asabye kooti emuwe ebitabo by’amateeka omuli ne ssemateeka w’eggwanga yewolereze.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Jonathan Muwaganya lusabye omulamuzi okusaba kwa Kasolo ng’agamba nti agenderera kubamalira budde.
Omulamuzi akkiriziganyizza n’oludda oluwaabi, n’agamba nti ekkomera ly’e Luzira Upper prison Kasolo gyali ku alimanda ebitabo by’amateeka byonna gyebiri abisabeyo babimuwe, era omulamuzi amuzizzaayo ku alimanda ne banne abalala bataano.
Isaac Ssennabulya myaka 20 gwebabadde bavunaanibwa naye yakkirizza omusango, era omulamuzi n’amukaliga mu nkomyo yebakeyo emyaka 40, wabula yamusaliddeko esatu gy’abadde yakamala ku alimanda.
Bisakiddwa: Betty Zziwa