Police mu Kampala n’emiriraano etubidde n’obuwangwa bw’abantu 3 n’eccupa z’omusaayi oguteeberezebwa okubeera ogw’abantu oba ebisolo, byezudde mu ssabo ly’omutuuze e Masajja ku lw’e Busaabala.
Mu kikwekweto ekikoleddwa police, ezudde musajja mukulu ow’emyaka 50 eyeyita Jjajja Magombe John mu Makindye Ssaabagabo ng’aliko ebisigalira by’abantu byábadde akukulidde.
Okusinziira ku amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Oweyisigire, Jajja Magombe akuumibwa ku police ye Katwe, ng’okunoonyereza ku bisigalira by’abantu ebyazuuliddwa ewaka we bwekugenda mu maaso.
Bisakiddwa: Kato Denis