Abadde munnamateeka omukulu ow’ekibiina ki National Unity Platform Anthony Wameli aziikiddwa ku biggya byabajjajjabe ku kyalo Bukhaweka mu district ye Namisindwa.
Abadde munnamateeka omukulu ow’ekibiina ki National Unity Platform Anthony Wameli aziikiddwa ku biggya byabajjajjabe ku kyalo Bukhaweka mu district ye Namisindwa.
Munnamateeka Anthony Wameli afiiridde ku myaka 45 egy’obukulu.
Abakulembeze b’ekibiina kya National Unity platform basinzidde mu kuziika kuno nebakolokota abayivu mu ggwanga lino naddala bannamateeka abeekobaana ne government okunyigiriza bannansi n’okubaliisa akakanja nga bekweka mu mateeka n’obuyigirize.
Robert Kyagulanyi Ssentamu omukulembeze wa NUP atenderezza Omugenzi Anthony Wameli olwokwerekereza okugaggawala, obulamu bwe bwonna nabuwaayo okulwanirira bannansi abanyigirizibwa , abazze basibibwa olw’ebyobufuzi n’abalala.
Kyagulanyi Ssentamu asiimye nnyo Omugenzi Anthony Wameli olwettofaali lyatadde ku lutabaalo lw’okulwanirira enkyukakyuka mu bukulembeze bw’eggwanga lino.
Amyuka President wa NUP mu Buganda era akulira oludda oluvuganya government mu parliament Mathias Mpuuga Nsamba agambye nti okufa kwa Anthony Wameli kulese eddibu ddene mu lutabaalo lw’okununula eggwanga, era Mpuuga asinzidde mu kuziika kuno naakowoola abantu b’r Bugisu abayivu begatte ku lutabaalo batandiikire munnamateeka Wameli w’alukomezza.
Mpuuga agambye nti ebbanga lyonna, munnamateeka wameli wakusigala nga muzira mu mitima gyabalwanirira enkyukakyuka.#