Ekibiina kya Alliance For National Transaformation (ANT) kyagala ssemateeka wa Uganda akolebwemu enoongosereza mu bwangu, ezikendeeza ku buyinza bwa Parliament n’omukubiriza waayo, saako okuzzawawo ebisanja bya president wa Uganda.
Bagamba nti parliament erina obuyinza bungi nti kyekimu ku byongedde okudobonkanya eggwanga lino.
Mu kiseera kino bannauganda bakyewunaaganya ku buwanana bw’e nsimbi ezigambibwa okuba nga zezisaasaanyibwa abakulembeze ba parliament ezisoba mu buwumbi bwa shs 2 buli lunaku, saako ensimbi endala zebegabanya ng’akasiimo, kwotadde neziwebwa ababaka ba parliament ku mirimu egyenjawulo, so ng’obuweereza mu bintu ebigasiza awamu abantu bukyali bwa munyoto.
Abakulembeze ba ANT bagamba nti parliament erina obuyinza bungi obusalawo ku nsonga ez’enjawulo, ekiviiriddeko enguzi, n’okudibuuda ensimbi okweyongera awatali abakuba ku mukono.
Mu lukungaana lwabanna mawulire olutudde ku kitebe kya ANT e Bukoto,Ssaabakunzi w’ekibiina kino Winnie Kizza agambye nti singa ssemateeka w’egwanga takendeeza ku buyinza bwa parliament eggwanga likyali mu kattu.
Kiiza agambye nti n’ekkomo ku bisanja by’omukulembeze we ggwanga nabyo byetaaga okuddamu okutekebwa mu ssemateeka nga president akulembera ebisanja bibiri byokka.
Winnie Kizza agambye nti ekivuddeko embeera y’abantu okudda ku nsimbi ze ggwanga nebazibwebwena nga tebakwatibwako, kwekubanga ebitongole bingi tebyetengeredde mu nkola yabyo ey’emirimu.
Omwogezi w’ekibiina kya ANT Gerald Karuhanga alabudde ne parliament ya Uganda nti ezuukuke ebeeko nekyekola ku kibba ttaka ekisuse mu ggwanga, nga kikolebwa abanene mu government nti singa tekiyimirizibwa banansi bagenda kufuuka emmomboze munsi yabwe.#