Olukiiko lw’e kibiina kya NRM olwokutikko olwa Central Executive Committee (CEC) olutudde olwa leero luloze Amyuka speaker wa parliament Anita Among okukwata bendera yekibina Kyabwe ku kifo kya sipiika wa parliament.
Olukiiko olukubiriziddwa ssentebe we kibiina kino era president wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa.
Ababaka ne ba minister 13 bebaabadde basabye okulondebwa ekibiina bavuganye, wabula Jane Ruth Acheng minister w’ebyobulamu yaggyeyo erinnya lye ku ssaawa esembayo.
Mike Mukula omu ku bakiise ba CEC atubuulidde nti awatali kwesalamu abakiise ba CEC, basazeewo nti ekibiina kyabwe kiwagire Anita Among alondebwe ku bwa sipiika bwa parliament.
Okuva nga 24 may,2021 Anita Among abadde mumyuka wa sipiika, era ng’okuva olwo abadde yakakubiriza entuula 70,olw’abadde Sipiika Jacob Oulanyah okuba ng’abadde atawanyizibwa obulwadde.
Baasoose kwogera ku mirimu emirungi egikoleddwa Jacob Oulanyah,nebamwogeralo ng’omukulembeze abadde eky’okulabiralo ekirungi era abadde ayagala ennyo eggwanga lye.
Olunaku olw’enkya ssentebe wa NRM wamusisinkana ababaka bonna ab’ekibiina mu kisaawe e Kololo,okubannyonyola ekibiina wekituuse ku nsonga z’okulonda sipiika.
Mu ngeri y’emu n’oludda olivuganya government enkya lwelusalawo omuntu gwebagenda okusbawo okuvuganya ku kifo kya sipiika n’omumyuka we.
Ate ku lw’omutaano olutuula lwa parliament nga lukubirizibwa Ssaabalamuzi,mwemugenda okulonderwa sipiika n’omumyuka we.