Government ya United States of America etadde envumbo ku bakulu mu government ya Uganda abeenyigira mu kutyoboola eddembe ly’obuntu n’ebikolwa ebirala ebifutyanka enfuga etambulira ku ssemateeka w’eggwanga ne democracy.
Envubo zino zibakugira okulinnya ku ttaka lya America ezimanyiddwanga Visa restrictions era zitwaliramu n’abooluganda lw’abakulu, wabula nga tebayasanguziddwa mannya gabwe.
Envumbo zino ezirangiriddwa ministry ya America evunaanyizibwa ku nsonga z’amawanga amalala bazitadde ku nsonga ezenjawulo.
Mulimu ebikolobero America byerumiriza nti byaliwo mu kakuyege n’akalulu k’omwaka 2021, Ab’oludda oluvugabya government ya Uganda kekalumiriza nti ekibiina ekiri mu buyinza ekya NRM kyakabba , ekitta bantu ekyaliwo mu biseera byokunoonya akalulu, okutyoboola eddembe lyabantu nti abeenyigira mu mukwano ogw’ekikula ekimu, okutyoboola eddembe lyabannamawulire , abalwanirizi b’obutonde bwensi , ebibiina byobwannakyewa neeryabo abavuganya government.
Ekiwandiiko ekivudde mu ministry ya America ey’ensonga zamawanga amalala ekinyonyola ku nvumbo zino ,wadde tekirambuludde mannya g’abantu abassidwako envumbo ezo, government ya America egambye nti emyaka egiyise bweyalangirira nti yali yakuteeka envumbo ezo ku bakulu abo, government ya Uganda teyafaayo wadde okubaako byetereeza.
Mu April w’omwaka 2021, oluvanyuma lw’akalulu ka 2021, government ya America yalangirira envumbo ku bakulu mu government ya Uganda, beyalumiriza okwenyigira mu vvulugu eyeyolekera mu kalulu ako, gweyagamba nti yetoloolera mu kutyoboola eddembe ly’obuntu era nti akalulu ako, tekaalimu mazima nabwenkanya.
America okulangirira envumbo zino ebadde yakalangirira entegeka y’okugoba Uganda mu katale ka America aka AGOA , era ku nsonga zezimu ezokulinyirira eddembe ly’obuntu
America werangiridde envumbo zino nga bangi ku bawagizi booludda oluvuganya government abaakwatibwa mu kalulu ka 2021, bakyali mu makomera, abalala abagambibwa okubuzibwawo abebyokwerinda tebamanyiddwako mayitire.
Government egamba temanyi gyebali songa naabo abattibwa abebyokwerinda mu mwaka gwa 2020 mu Novumber mu kibuga Kampala tebaliyirirwanga nga government bweyasuubiza.
Government ya Uganda tenabaako kyennyonyola ku nvumbo zino empya America zeyaakalangirira.#