Nga Uganda yetegekera okukuza emyaka 61 egy’amefuga, nga 09 October,2023 emikolo gy’amefuga gyakubeera Ku ttendekero lya Kitgum Farm Institute mu district ye Kitgum.
Amefuga gano gakutambulira l Ku mulamwa ogugamba nti “Okunyweeza eby’enkulakulana mu ggwanga n’okutwala obuvunanyizibwa bw’eggwanga erya wamu‘
Minister w’ensonga z’obwa President Milly Babirye Babalanda asinzidde ku media centre mu Kampala n’agamba nti waliwo ebintu bingi ebituukiddwako mu biti ebyenjawulo okuli ebyenjigiriza eby’eby’obulambuzi n’ebirala.
Minister Milly Babirye Babalanda agambye nti abantu 41 bebasuunsuddwamu okuba ab’enkizo, bebagenda okuweebwa emiddaali egyenjawulo ku mikolo egy’amefuga.
Uganda yafuna amefuga nga 09 October,1962 okuva ku bafuzi b’amatwale.
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico