President wa Uganda Gen Yoweri Kaguta Tibuhaburwa MUseveni awabudde bakulembeze banne ne bannansi mu mawanga aga Africa okufaayo n’okulwana okugatta amawanga gabwe, Africa bweneeba yakwerwanko okumalawo okujoogebwa kw’abazungu.
President Museveni abadde aggulawo mu butongole empaka z’amasomero ga East Africa ez’emizannyo egy’enjawulo ez’omulundi ogwa 21, ezimanyiddwanga Federation of East African Secondary Schools Association (FEASSA).
Empaka zino ziyindira ku ssomero lya Bukedea Comprehensive School.
President Museveni agambye nti singa abakulembeze ne bannansi b’amawanga ga Africa tebafaayo kusoosowaza bumu n’okwegatta saako okukozesa ebintu ebikolebwa mu mawanga gabwe, ebirooto bya Africa okukulaakulana babiveeko.
Sipiika wa parliament ya Uganda era nannyini ssomero ewategekeddwa empaka zino, agambye nti bateeseteese ebyetaagisa ebimala, era ebisaawe ebyazimbiddwa byakuyambako okutumbula ebyemizanyo mu mawanga ga East Africa ne Africa okutwalira awamu.
Okusinziira ku Nampala wa NRM mu parliament ya Uganda, era eyaliko minister w’ebyemizanyo, Hamsom Obua, abazannyi abasoba mu 3,000 bebeetabye mu mpaka zino okuva mu mawanga ga east Africa 4 okuli Burundi, Kenya, Uganda ne Tanzania.
Baakwetaba mu mizannyo okuli emisinde, Volleyball, Handball, Hockey, Rugby, Badminton, omupiira ogwebigere, ogwokubaka n’emirala.
President w’ekibiina ekitaba empaka zino mu Uganda ekya Uganda Secondary schools Sports Association (USSA), Justus Mugisha, atenderezza sipiika Annet Anita Among Magogo, olwokusiga ensimbi mu bisaawe n’essomero ery’omutindo erisobodde okukyaza emizannyo gy’omutendera gwa East Africa.
Uganda ye nnantameggwa w’empaka zino mu mwaka gwa 2019, 2022 ezali mu Arusha, nga nezisembyeyo essomero lya St Mary’s SS Kitende lyeryaziwangula mu mwaka gwa 2023 ezaali mu kibuga Huye e Rwanda, nga ekomyewo okuvuganya ne mu mwaka guno 2024 eziri ee Bukedea Soroti.
Bisakiddwa: Ddungu Davis