
Ministry ye byenjigiriza ekyusizza ennaku z’okuggulawo amasomero, gakuggulwawo nga January 10 omwaka ogujja 2022, sso si nga 3 January 2022.
Mu nteekateeka eyasooka okufulumizibwa ministry ye byenjigiriza, amasomero gaali gakuggulibwawo olusoma olusooka nga 3 January 2022, era nga lwabadde lwakumala ennaku ezikunuukiriza mu 85.
Wabula, ensonda mu ministry ye byenjigiriza zitegezzezza CBS nti Ministry yakyusizza ennaku zokuggulirawo amasomero okusobozesa abazadde na buli muntu akwatibwako ensonga eno okwongera okweteekateeka obulungi.
Ensonda zigamba nti Minister w’ebyenjigiriza n’ebyemizannyo, Janet Kataha Museveni olunaku lwe ggulo yasisinkaanye Omukulembeze w’e ggwanga nga ali wamu ne ttiimu y’abakugu okuva mu ministry y’e byenjigiriza okwongera okutaanya enteekateeka y’okuggulawo amasomero.
Mukyala Museveni eggulo yabadde asuubirwa okusisinkana ababaka ba Palamenti ku kisaawe e Kololo okubanyonyola enteekateeka yo kuggulawo amasomero wetuuse mu kiseera kino, wabula ensisinkano yayimiriziddwa ku ssaawa esembayo.
Okusinzira ku omu ku betabye mu nsinsikano ya President Museveni ne tiimu ya Mukyala Museveni olunaku lweguulo, President yalagidde Ministry y’e byenjigiriza eyongere okwebuuza ku bantu abalala abakwatibwako ebyenjigiriza, ku ngeri amasomero gyegasaanye okuggulibwamu mu mbeera eriwo.
Ensonda zigamba nti kino President yakiragidde oluvanyuma lwokukizuula nti waliwo abakulembeze abatandise okuyingiza ebyobufuuzi mu nteekateeka y’okuggulawo amasomero agamaze ekiseera nga maggale ekiyinza okwongera okutabula abazadde n’abayizi.
Era ensonda zitegezzezza nti olunaku lwa leero, Ministry ye byenjigiriza entegeese ensinsikano nabamu ku babaka ba Palamenti, abamu ku bananyini masomero nabakwatibwako ensonga z’e byenjigiriza abalala okwongera okutaanya enteekateeka yo kuggulawo amasomero.
Ensinsinakano ya leero esuubirwa kubeera ku mutimbagaano wadde abamu ku bakugu mu byenjigiriza bagenda kubeera mu maka g’o bwa President Entebbe wamu ne Ministier we byenjigirza ne bye mizaanyo, Janet Museveni.
Ensonda zongedde okulaga nti mu bigenda okuteseebwako era bikwata ku ngereeka y’ebisale by’amasomero egenda okugobererwa nga amasomero gaguddewo, okwewala amasomero okunyigiriza ennyo abazadde abakozeseddwa omuggalo gwa COVID 19.
Oluvanyuma lwe nsisinkano ya leero, ensonda zigambye nti ebinavaamu bigenda kutwalibwa mu lukiiko lwa ba minister oluvanyuma bitwalibwe mu Palamenti.
Wabula, Ssabawandisi we kibiina ekigatta amasomero ga Primary ne Nursery mu ggwanga, ekya National Private Owners Primary and Nursery Schools Association, Dominic Nanyini asssanyukidde ekya Ministry okuddamu okwebuuza ku bakwatibwako ebyenjigiriza nga amasomero tteganaggulawo, nti kubanga bingi ebirina okwetegerezebwa enjuuyi zonna ezikwatibwako obutanyigirizibwa.
Bino bijidde mu kiseera nga n’akakiiko akavunanyizibwa ku kuwandiisa abasomesa mu ggwanga aka Education Service Commission kakyali mu kwetegereza ensonga z’abasomesa abagambibwa nti baamala okugezesebwa nebayitamu okuwebwa emirimu, naye abamu tebagala kugenda mu masomero agali mu byalo.
Ssabawandiisi w’akakiiko kano, Dr. Asuman Lukwago ategezzezzza CBS nti besanze ng’abasomesa bangi tebagala kuweereezebwa mu masomero agali mu massoso ge byalo, bagala masomero agali mu Kampala ne bitundu ebiriranyewo. N’olwekyo balina okukakasa ng’abasomesa bonna betegekera olusoma olujja olusigaddeko ebbanga lya mwezi gumu n’ekitundu lutandike.