Amasasi ganyoose mu kabuga ke Ssemuto mu district ye Nakaseke, police bwebadde egezaako okukwata ateberezebwa okubeera omutemu ,amasasi gebakubye gakutte omusuubuzi abadde mu dduka lye nafiirawo.
Bino bibadewo ku saawa nga zikunukiriza okuwera ebiri ezékiro kya Thursday.
Police omuntu gwebadde egoba ateeberezebwa okubeera ng’alina ky’amanyi ku muntu omulala eyatemuddwa ku wednesday nga 08 march,2023.
Police eyiiriddwa mu bungi mu Kabuga ke Ssemuto okukakanya abatuuze abataamye obugo.
Police ye Nakaseke tenabaako kyenyonyola ku mbeera ebaddewo.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif