Amasasi gamyose mu kitundu kye Nasenge mu Wakiso abazigu ab’emmundu balumbye Mobile Money mu kiro ekikeseza olwaleero nga 20 May 2025 nebanyagulula mobile Money.
Obulumbaganyi buno bubadde mu kabuga ke Kasenge webaakazaako mu Toninnyira,era bazigu bano kigambibwa nti waliwo gwebakubye essasi mu kugezaako okugugumbula abatuuze.
Kigambibwa mti owa Mobile Money abazigu bamukubye emiggo mizibu, oluvanyuma lw’okumunyagulula nebamuleka awo ng’ataawa.
Abamu ku batuuze ab’ogeddeko ne CBS ku bulumbaganyi buno bagamba nti amasasi bwegavuze buli omu akutte lirye, abazigu nebeekola ekigenyi.
Wabula cbs bwetuukiridde omwogezi wa police mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye alipoota y’obunyaguluzi buno abadde tanajifuna.#